Ebipya byongedde okuzuuka ku kyavuddeko taata James Wakabi, omutuuze ku kyalo Ngandu mu Divizoni y’e Mukono, okutta abaana be babiri (2) naye neyatta.
Abaana abattiddwa kuliko Abigail Ainomugisha 3 ne Daniella Sabano 2.
Okunoonyereza kulaga nti oluvanyuma lwa mukyala wa Wakabi, Viola Tumusiime okudduka ne ssente za bba, obukadde 6, eyinza okuba y’emu ku nsonga lwaki yesse.
Kigambibwa Wakabi yakomyewo awaka ekiro ku Ssande ku ssaawa nga 3, kwe kusanga abaana nga bali bokka mu nnyumba ng’omukyala Tumusiime yadduse dda n’ebintu bye.
Yasobodde okuddayo ku dduka okufuna obutwa era landiloodi Grace Nalubega yawulidde miranga ng’abaana banoonya buyambi.
Okutuuka mu nnyumba ng’abaana bali mu maziga, bakaaba n’okusesema era amangu ddala kwekutwalibwa mu ddwaaliro okutaasa obulamu.
Ssentebe w’ekyalo Ibrahim Katende, agamba nti abaana bafudde nga bakatuuka mu ddwaaliro ekkulu e Mukono ate taata yafudde nga wakayita eddakika 5.
Wabula abatuuze bazudde nti Wakabi abadde yakatunda ettaka obukadde 6 okusobola okutandiika omulimu kyokka omukyala zonna yazitutte.
Mungeri y’emu bagamba nti omukyala abadde asukkiridde obwenzi era abadde yakamala okukwata omukyala ng’ali mu kikolwa n’omusajja mu kazigo.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi efunye alipoota ez’enjawulo era okunoonyereza kuli mu ggiya nnene – https://www.youtube.com/watch?v=14wyjKebvNo&t=7s