Ekitongole eky’amakkomera kivuddeyo ku ntekateeka z’okutta Dr. Kizza Besigye.
Besigye ali ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu ngeri emenya amateeka, okulya mu nsi olukwe n’okupaana, okutaataganya ebyokwerinda by’eggwanga lino Uganda.
Mu kkomera, avunaanibwa ne Hajji Obeid Lutale Kamulegeya ssaako ne munnaggye Capt Dennis Ola.
Wabula okusinzira ku kitongole eky’amakkomera, okuva wiiki ewedde, waliwo ebigambo ebizze bitambuzibwa ku mikutu migatta abantu, ebikwata ku nsonga za Besigye.
Ebimu kwebyo ebizze bitambula mwe muli
– Okugaana Besigye okuddamu okufuna emmere embisi okuva ebweru w’ekkomera
– Besigye yagaanye okuddamu okulya ekintu kyonna, mbu ali mu kwekalakaasa
– Okugaana Besigye okuba ne basibe banne
– ssaako ne Gavumenti okweyambisa ekitongole eky’amakkomera okutta Dr. Besigye.
Wabula okusinzira ku mwogezi w’ekitongole eky’amakkomera Frank Baine, byonna ebizze bitambula okuva wiiki ewedde, byabulimba.
Baine agamba nti Besigye siwanjawulo ku basibe abalala wabula byonna ebikolebwa, batambulira ku mateeka.
Ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti omusibe yenna okuggya emmere ebweru w’ekkomera, ssi ddembe lya bwebaange.
Frank Baine agamba byonna bya bulimba, alabudde abali mu kutambuza obulimba okukikomya.
Wabula okusinzira ku munnamateeka wa Dr. Kizza Besigye, omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, Besigye agenda kuttibwa nga 9, June, 2025.
Lukwago, agamba nti Gavumenti yafunye dda omuti mu bitundu bye Gulu, gwegenda okweyambisa okuttirako Besigye.
Nga munnamateeka, Lukwago agamba nti emisango egivunaanibwa Besigye, Gavumenti eyagala kugyeyambisa okutta omuntu waabwe.
Lukwago agamba nti bagenda kukola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwa Besigye – https://www.youtube.com/watch?v=14wyjKebvNo&t=7s