Poliisi eyimiriza ekivvulu ky’omuyimbi King Saha akawungeezi ka leero.
Ekivvulu, kibadde kigenda kubeera Lugogo Cricket Oval.
Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, Poliisi efunye alipoota eyavudde mu bitongole ebyabwe eby’enjawulo, eraga nti ekisaawe ky’e Lugogo, tekiri mu mbeera nnungi nga kiyinza okuleeta obuzibu.
Kituuma agamba nti tebayinza kulinda bantu kufuna buzibu, King Saha alina okulinda okutuusa ng’embeera y’ekisaawe, etereezeddwa –
Linda ebisingawo – https://www.youtube.com/watch?v=14wyjKebvNo&t=10s