Amyuka Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa alayidde okunoonya omukyala eyeeyita Ssenga Acid ku mikutu migatta abantu, ayagala okutabangula amakaage.

Okusinzira ku bigambo ebyayogedde Ssenga Acid ku TikTok, agamba nti Sipiika Tayebwa, aludde ng’ali mu laavu ne Sheilah Gashumba, nga bakola byonna, nga tewali kweyambisa Kapiira.

Ssenga Acid alaga nti famire ya Thomas Tayebwa, agimanyi bulungi ddala, mukyala we ssaako n’omwana, kyokka ennaku zino, Sheilah Gashumba, yabadde asinga okumugabira ebyalo.

Sipiika Tayebwa ne Ssenga Acid

Wabula Sipiika Thomas Tayebwa, asigadde yewuunya, okumusibako omuwala, tayogerangako naye, talina ssiimu ye, nga byonna bigendereddwamu kutabangula makaage.

Agamba nti okunoonyereza kulaga nti omuwala oyo, Ssenga Acid awangalira mu ggwanga lya Canada.

Eddoboozi lya Tayebwa

Mungeri y’emu, agamba nti wadde ayogera Luganda, omwana Mukiga we Kabaale.

Tayebwa, alangiridde okunoonya omuwala oyo, Ssenga Acid okutuusa ng’akwatiddwa.

Sheilah Gashumba ayogerwako, talina musajja amanyikiddwa wabula abaddeko mu laavu n’abasajja ab’enjawulo omuli Marcus Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan, Derrick Ddungu amanyikiddwa ng’omuyimbi Rickman Manrick n’abalala – https://www.youtube.com/watch?v=EqBJPI5IAws