Abayekera ba M23 mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo (DRC) balangiridde okuyimirizza eby’okulwana n’okutandiika olwaleero ku Lwokubiri.
Okusinzira ku kiwandiiko kyabwe, bagamba nti bayimiriza emmundu olw’ensonga z’eddembe ly’obuntu.
Ekibiina ky’amawanga amagate kigamba nti oluvanyuma lwa M23 okuwamba ekibuga Goma, bakazuula emirambo 900, abantu 2,880 banyiga biwundu.


Ensi zi G7 (Canada, France, Germany, Italy, Japan, Bungereza ne America) zavuddeyo okusala amagezi ku ngeri y’okuyimiriza embeera y’olutalo mu Congo.
Wabula ekibiina ky’abayekera eky’obufuzi ki Congo River Alliance, bagamba nti amaggye ga Gavumenti gasukkiridde okutta abantu nga beyambisa ennyonyi, okusuula bbomu ku bantu mu bitundu ebyawambiddwa.

Embeera mu Congo

Munngeri y’emu basuubizza okwongera okuteeka amaanyi nga bakuuma emirembe n’obulamu bw’abantu.
Kigambibwa okuva 26, January, 2025, abantu abali 400,000 kati babundabunda mu nsi munda ssaako n’abamu okuddukira mu nsi endala omuli Rwanda, Uganda n’endala

https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgp