Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) bagamba nti balina okunoonya omuntu omutuufu, agwanidde okudda mu bigere by’omugenzi Muhammad Ssegirinya.
Olunnaku olw’eggulo, NUP yafundikidde okuwandiisa abantu, okunoonya agenda okulemberamu ekibiina mu kulonda kwa 13, March, 2025 e Kawempe North.
Okusinzira ku ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu NUP, Mercy Walukamba, ekibiina kyafunye abantu 10 abalina ebisanyizo omuli Magala Umar, Mulumba Mathias, Nsereko Moses, Rubagumya Charles, Erias Luyimbaazi Nalukoola, Fredrick Kakiika, Salim Sserunkuuma, Ssenkungu Kenneth, Luwemba Muhammad Luswa ne Kulya Saul Zziwa.
Okusinzira ku ntekateeka z’ekibiina, ku Lwokutaano nga 7, Febuary, 2025, waliwo okubaganya ebirowoozo mu lujjudde ku kitebe ky’ekibiina e Makerere-Kavule.
Oluvanyuma ekibiina kirina okusindika abakugu wansi ku byalo, okwongera okwebuuza ku bantu abaavuddeyo nga begwanyiza ekifo.
Wabula Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) asabye bannakibiina okukola kyonna ekisoboka, okuleeta omuntu agwanidde.
Bobi Wine era asabye bakulu banne mu kibiina, okutekateeka okulaba nga entekateeka y’okubaganya ebirowoozo mu bantu abesimbyewo, egenda mu ggwanga lyonna.
Eri abantu 10, abaavuddeyo nga banoonya kaadi y’ekibiina, Bobi Wine abasabye okuwagira omuntu, abakulembeze gwebanalonda okulemberamu ekibiina – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE