Cristina Serra, mukyala wa manejja wa Man City, Pep Guardiola myaka 54 alemeddeko, asabye kkooti okwawukana ne bba.
Mu kkooti, Serra agamba nti bba Pep asukkiridde okwagala omupiira nga kizibu nnyo okufaayo eri famire.
Agamba nti n’okusingira ddala sizoni eno, nga Man City omutindo gusse, Pep tafaayo eri famire nga talina nsonga yonna, kusigala mu bufumbo.
Mu kkooti, Pep yafulumye akaaba ng’agamba nti abadde akola byonna ku lwa famire okufuna ku ssanyu ne mukyala we kyokka kati, omukyala alemeddeko nti agenda.
Kigambibwa Pep n’omukyala Serra baludde nga balina obutakaanya era kigambibwa y’emu ku nsonga lwaki Pep alemeddwa n’okuyamba kirabu ya Man City, okudda obulungi engulu.
Pep abadde ne Serra emyaka egisukka 30 era omukwano gwabwe gubadde gutambula bulungi okutuusa embeera okusajjuka okuva omwaka oguwedde olw’omutindo gwa Man City.
Pep n’omukyala balina abaana basatu (3) okuli abawala babiri (2) Maria Guardiola, Marius Guardiola, Valentina Guardiola.
Kigambibwa Serra yamaze dda okuddayo mu Barcelona mu ggwanga erya Spain, okutambuza emirimu gye ng’abadde awangalira mu kibuga Manchester mu ggwanga erya Bungereza emyaka egisukka 3.
Cristina Serra alina Kampuni ekola ku misono mu bibuga eby’enjawulo omuli Catalonia era emirimu gibadde gitambula bulungi.
Okwawukana singa kukirizibwa, Pep n’omukyala balina okugabana ebintu – https://www.youtube.com/watch?v=0G9pUx_pi-g