Abaana 17 bafiiridde muliro ku ssomero ly’obuyisiraamu mu mambuka g’eggwanga erya Nigeria.
Kigambibwa abaana bangi batwaliddwa malwaliro nga bali mu mbeera mbi mu tawuni omuli Kauran Namoda, Zamfara.
Okunoonyereza kulaga nti omuliro gwatandikidde ku nnyumba y’oku mulirwano oluvanyuma ne gulumba essomero mu kiseera ng’abaana bebase.
Abaana abafudde okuli n’abali malwaliro ag’enjawulo bali wakati w’emyaka 10-16.
Mu kiseera kino, abakulu mu bitongole byokwerinda, balagidde okunoonyereza okuzuula ekituufu ekivuddeko omuliro.
Abatuuze ku kyalo nga bakulembeddwamu Yahaya Mahi agamba nti essomero obutaba n’amakubo, kyabadde kizibu nnyo okuzikiza omuliro.
Kigambibwa essomero kubaddemu abayizi abasukka mu 100 n’okusingira ddala okuva ku kyalo Kaura Namoda.
Omwogezi wa Poliisi mu Nigeria Yazid Abubakar, agamba nti okunoonyereza okuzuula ekituufu, kutandikiddewo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e7ihcj8z8O4