Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akoze enkyukakyuka mu kitongole ekiramuzi.
Pulezidenti Museveni alonze Flavian Zeija, okumyuka Ssaabalamuzi wa Uganda, okudda mu bigere by’omulamuzi Richard Buteera, agenda okuwumula mu April, 2025, oluvanyuma lw’okuweza emyaka 70.
Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa akakiiko akakwasisa abalamuzi empisa n’okuwumula, aka Judicial Service Commission, Pulezidenti Museveni alonze n’abalamuzi 8 mu kkooti ejjulirwamu, kkooti ya sseemateeka, omulamuzi omu owa kkooti ensukkulumu n’abalamuzi 21 aba kkooti enkulu.
Mungeri y’emu n’omulamuzi Bukirwa Faridah, naye azzeemu okulondebwa okugira ng’akolanga omulamuzi wa kkooti enkulu ow’akaseera.
Abalamuzi abo okulondebwa, kidiridde akakiiko aka Judicial Service Commission nga bakulembeddwamu omulamuzi Benjamin Kabiito, okwekeneenya abalamuzi abo era entekateeka yakomekerezebwa nga 21, January, 2025.
Muzamil Mutangula Kibeedi, yalondeddwa ng’omulamuzi wa kkooti ensukkulumu – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE&t=1s
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.