Omuwala wa Yunivasite awonye emiggo gy’abatuuze ne mukyala mukulu, bw’asangiddwa ng’ali mu kaboozi n’omusuubuzi w’omu Kampala mu maka g’e Buziga.
Kigambibwa omusuubuzi ategerekeseeko erya Mike y’omu ku baludde mu Kikuubo, Kampala nga bakola emirimu egy’enjawulo era alina amaduuka agasuubuza ebintu eby’enjawulo.
Mukyala mukulu ategerekeseeko erya Stella agamba nti abadde afuna amawulire n’Olugambo nti bba alina omuwala wa Yunivasite era baludde nga basinda omukwano mu maka gaabwe ag’e Buziga.
Stella nga naye mukyala musuubuzi alina saluuni mu Kampala, agamba nti yafunye abantu abayinza okumuwa amawulire singa baddamu okulaba omusajja n’omuwala nga bayingira mu maka e Buziga.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna ku ssaawa nga 10 ez’akawungeezi, Stella agamba nti yafunye essimu nti bba amaze okutuuka e Buziga kyokka mbu yabadde yekka.
Wabula ku ssaawa nga 11 ez’akawungeezi, yazzeemu okufuna essimu nti waliwo omuwala atuuse ng’ali ku bodaboda.
Stella yasobodde okufuna bodaboda okugenda e Buziga, okwekeneenya bba oba ddala yabadde ali mu bwenzi.
Okutuuka mu maka e Buziga, nga bba Mike ali mu kusinda mukwano n’omuwala wa Yunivasite, emu kwezo eziri mu Kampala.
Ekirungi yamukutte lubona ng’omuwala akutte solido mu ngalo agiweweeta oluvanyuma lw’okuginywegera era amangu ddala yamwambalidde.
Omukyala Stella yakubye enduulu eyasombodde abatuuze era abatuuze okutuuka ng’omuwala ava mu nnyumba adduka nga yabadde ayambadde sikaati yokka ng’akutte empale mu ngalo ne bulawuzi.
Wakati mu kusakaanya, omuwala yasobodde okufuna bodaboda okudduka kyokka omukyala Stella yasigadde mu maziga nga yebuuza lwaki bba ayongedde okuwebuula ekitiibwa kyabwe.
Stella ne bba Mike, balina amaka ag’enjawulo omuli e Buziga, Bulenga ssaako ne Wakiso.
Wabula baludde nga basula Bulenga nga kigambibwa bba abadde anoonya muntu ayinza okupangisa amaka g’e Buziga – https://www.youtube.com/watch?v=VfjSo3XLgpE&t=1s
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.