Omuyimbi wa kaliyoki akubiddwa empi ne kibooko, bw’asangiddwa lubona ne muk’omusajja mu mmotoka ng’emikono gituuse mu bitundu by’ekyama.
Omuyimbi akubiddwa yeeyita Big Dog ng’ali mu myaka 30 era y’omu ku basinga okufuna ssente mu kaliyoki mu bitundu bye Luweero, Nakaseke ne Wakiso.
Wabula mu kiro ekikeeseza lwaleero, Big Dog abadde alina ekivvulu mu bitundu bye Gombe kyokka ku ssaawa nga 6 ez’ekiro, asangiddwa ng’ali ne muk’omusajja mu mmotoka ekika kya Subaru.
Omusajja nannyini mukyala ategerekeseeko erya Katende agamba nti yatuuse awaka nga mukyala we taliwo, ng’omwana amulekedde neyiba mbu yabadde agenze kulya ku bulamu.
Katende yasobodde okugenda okunoonya omukyala kyokka bwe yatuuse, omu ku mikwano gwe, yasobodde okumutegeeza nti mukyala we ali ne Big Dog mu mmotoka wansi ku kkubo.
Okutuuka ku mmotoka, nga kituufu omukyala ali munda n’omusajja bali mu kwenywegera nga Big Dog emikono agitadde munda mu sikaati y’omukyala.
Katende yalagidde Big Dog aggulewo oluggi lw’emmotoka era mu kusooka, Big Dog yabadde alowooza waliwo amukimye okugenda ku siteegi okukyamula abantu.
Wabula Katende yavudde mu mbeera era yakutte Big Dog amataayi ekyavudde ebikonde, empi ne kibooko.
Omukyala yavudde mu mmotoka okudduka okwewala ebiyinza okuddako nga n’abatuuze, bavuddeyo mu bungi okulaba ogubadde.
Okutuuka nga waliwo omusajja eyabadde akubwa kyokka yakubiddwa okutuusa nannyini kifo, bwe yavuddeyo okutegeeza nti eyabadde akubwa ye Big Dog.
Oluvanyuma lw’eddakika nga 5, Big Dog yalinye Pikipiki okuva mu kifo nga kigambibwa ne mmotoka gye yabaddemu, yabadde ya mukwano gwe.
Katende yabaddewo okudda awaka nga bw’alabula nti ye ssaawa omukyala okuva mu makaage kuba asukkiridde obwenzi. – https://www.youtube.com/watch?v=rRyKbyaJECA
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.