Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), emisana ga leero, lwebasuubirwa okulangirira omuntu, agenda okulemberamu ekibiina, mu kulonda kwe Kawempe North, okunoonya omukulembeze, agenda okudda mu bigere by’omugenzi Muhammad Ssegirinya, eyafa nga 9, omwezi oguwedde ogwa January.

Abegwanyiza ekifo ku kaadi ya NUP bali 10

Magala Umar

Mulumba Mathias

Nsereko Moses

Rubagumya Charles

Erias Luyimbaazi Nalukoola

Fredrick Kakiika

Salim Sserunkuuma

Ssenkungu Kenneth

Luwemba Muhammad Luswa

Kulya Saul Zziwa.

Okusinzira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP David Lewis Rubongoya, omuntu agenda okulangirirwa besigamye ku nsonga 3, omuli okwanukula ebibuuzo oluvanyuma lw’okusunsulwa ebitundu 40 ku 100, Dibeti eyakoleddwa wiiki ewedde ku Lwokutaano ebitundu 10 ku 100 ate okwebuuza ku bantu ku byalo ebiri mu Kawempe North ebitundu 50 ku 100.

NUP gw’egenda okuleeta, agenda kuttunka ne Sadat Mukiibi amanyikiddwa nga Kalifah Aganaga munnakibiina ki FDC, munna NRM Faridah Nambi n’abalala, abalinze okwesowolayo – https://www.youtube.com/watch?v=XZecamXyKKk