Eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki FDC Dr Kizza Besigye, enkya ya leero, akomezebwawo mu kkooti ya Buganda.
Dr Kizza Besigye ne munne Lubega Mukaaku bakwatibwa mu Kampala mu nga 14, June, 2022 ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu webaali bawakanya ebbeeyi y’ebintu okweyongera okulinya omuli sukaali, butto, omuceere, amafuta n’ebirala.
Emisango gyabwe egy’okukuma omuliro mu bantu, oludda oluwaabi lukulembeddwamu Allan Mucunguzi ate omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, yakulembeddemu bannamateeka ba Besigye ne Mukaaku.
Lukwago agamba nti kyewunyiza omusango okuzzibwa mu June, 2022 nga n’okutuusa kati, abantu be, bakyalemeddwa okufuna obwenkanya era mu kkooti, yasaba dda emisango gyonna gigobwe.
Wadde abavunaanibwa bakkirizibwa dda okweyimirirwa, Besigye wakugibwa ku limanda mu kkomera e Luzira, gye yasindikibwa kkooti y’amaggye, eyagiddwawo kkooti ensukkulumu ku misango omuli egy’okulya mu nsi olukwe – https://www.youtube.com/watch?v=XZecamXyKKk