Gavumenti evuddeyo ku mbeera ya Dr. Col Kizza Besigye, gye bagamba nti mulwadde ali mu mbeera embi, nga y’emu ku nsonga lwaki, ne mu kiro, ekikeeseza olwaleero, yagiddwa mu kkomera e Luzira natwalibwa mu kalwaliro, The Clinic, e Bugolobi okufuna obujanjabi.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2025/02/dds.png)
Okusinzira ku Minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi, Dr Kizza Besigye abasawo, baasobodde okumukolako era kati tali mu mbeera mbi.
Dr. Baryomunsi, agamba nti Besigye okugaana okulya emmere, ng’ali ku mazzi gokka emisana n’ekiro, y’emu ku nsonga lwaki embeera y’obulamu, ebadde eyongedde okunafuwa.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2025/02/besd.jpg)
Ku ky’okumutwala mu ddwaaliro e Bugolobi, Minisita Baryomunsi agamba nti kyakoleddwa, nga waliwo ‘sampo’ abasawo zebetaaga okuzuula engeri gye bayinza okuwa Besigye obujanjabi.
Besigye yasindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira bwe yali asimbiddwa mu kkooti y’amaggye ku misango egy’enjawulo omuli okusangibwa n’ebyokulwanyisa, okulya mu nsi olukwe n’emisango emirala.
Besigye avunaanibwa n’abantu abalala babiri (2) omuli Abeid Lutaale Kamulegeya ne Captain Denis Ola.
Wadde kkooti ensukkulumu yaggyewo kkooti y’amaggye, yalagidde fayiro z’emisango egibadde mu kkooti y’amaggye, okutwalibwa mu kkooti za buligyo wabula n’okutuusa kati, tekimanyiddwa fayiro zigenda kutwala ddi mu kkooti za buligyo – https://www.youtube.com/watch?v=PRcrHkSkyVk