Kyaddaki ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku nsonga za Dr. Col Kizza Besigye okusigala ng’ali ku limanda mu kkomera e Luzira.
Mu kiwandiiko kya Museveni, ku mukutu ogwa X asabye bannayuganda okwebuuza nti bwe kiba bagala emirembe, Naye Dr.Besigye bamukwatila ki?.
Agamba nti eky’okuddamu ku nsonga eyakwasa Besigye, gye misango gye okuwulirwa amangu mu kkooti, amazima okuvaayo okusinga okuteekawo embeera eyinza okutabangula eggwanga.
Museveni agamba nti tewali muntu yenna mu nsi, ayinza kubasomesa ku nsonga y’okusonyiwa omuntu yenna n’okutabagana kuba kikoleddwa okuva mu 1960.
Museveni agamba nti emisango okutambula akasoobo, kyava ku kkooti ensukkulumu, okulaba ebituli mu kkooti y’amaggye n’okulagira fayiro z’emisango okutwalibwa mu kkooti za buligyo.
Agamba bwe kiba talina musango, lwaki tasaba emisango gye okwanguwa mu kkooti, okusinga okusaba okweyimirirwa oba okusonyiyibwa.
Ku nsonga y’obulwadde, Museveni agamba nti e Luzira, waliwo eddwaaliro lya Gavumenti.
Agamba nti Besigye abadde afuna obujanjabi, omuli n’abasawo be okumulambula mu kkomera ssaako n’okutwalibwa mu Kiriniki ez’obwanannyini okumwekebejja.
Museveni agamba nti singa wabaddewo, ekyetaagisa ekyenjawulo ku nsonga y’okujanjaba Besigye, Gavumenti yandibadde efuna okuwabulwa.
Museveni era agamba nti Besigye okugaana okulya, y’emu ku nsonga lwaki ayongedde okunafuwa, nga kikyamu okusiinga gavumenti enziro.
Agamba nti kyewunyisa omuntu ali ku misango egya naggomola ate okugaana okulya, abantu okusobola okumusaasira.
Agamba nti bwe kiba kkooti y’amaggye yali etandiise okuwuliriza emisango gye negibawo, kati balinde emisango gye mu kkooti z’abantu babuligyo – https://www.youtube.com/watch?v=G7aGffI9BHI