Abatuuze, abasuubuzi ku kyalo Walusubi mu muluka gwe Namawojjolo mu ggoombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, basigadde mu maziga olw’omuliro okusanyawo ebintu byabwe.
Abatuuze bagamba nti omuliro gutandiise wakati w’essaawa 10 ne 10 n’ekitundu ez’ekiro wabula tekimanyiddwa guvudde kuki.
Abantu abali mu maziga mwe muli abatunda eby’okulya omuli
- Emmere
- Abasuubuzi omuli abatunda mukene, ennyanya, emboga, butungulu n’ebirala.
- Makanika w’amassimu n’abalala era obuyumba bwonna buweddewo.
Abasuubuzi basabye Gavumenti okuvaayo okubadukirira ne Kapito kuba emmaali yonna eweddewo.

Ate abakulembeze ku kyalo, basabye ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza ennyo kuba kiteeberezebwa nti waliwo abantu abalina omutima omukyamu, abayinza okuba nga baakumye omuliro.
Ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=J_IFuYkGxkk