Ensala y’omulamuzi wa kkooti esookerwako ku Buganda Road, etabudde bannamateeka ba Dr. Col Kizza Besigye enkya ya leero.

Besigye ne  munne Lubega Mukaaku baakwatibwa mu Kampala mu nga 14, June, 2022 ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu webaali bawakanya ebbeeyi y’ebintu okweyongera okulinya omuli sukaali, butto, omuceere, amafuta n’ebirala.

Olw’omusango okutambula akasoobo, ng’oludda oluwaabi lukyalemeddwa okuleeta abajjulizi bonna, bannamateeka ba Besigye ne Mukaaku, nga bakulembeddwamu omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, baasaba omulamuzi, agobe omusango okusinga okutyoboola eddembe ly’abantu baabwe.

Enkya ya leero, omulamuzi Winnie Nankya akedde ku nsala ye.

Omulamuzi agaanye ogoba omusango wadde okuyisa ekiragiro okutwala Besigye mu ddwaaliro wabula asobodde okuyimiriza omusango okumala ennaku 60, okutuusa nga Besigye afunye obujanjabi.

Omulamuzi Nankya era agamba nti olw’okuwulira emisango egiri mu kkooti enkulu ku nsonga za Besigye, singa awa ensala ye kati, kiyinza okontana n’ebiri mu kkooti enkulu.

Awadde ensala ye mu kiseera nga Besigye, taleeteddwa mu kkooti wadde wiiki ewedde ku Lwokutaano, yali alagidde ekitongole eky’amakkomera, Besigye okuleetebwa mu kkooti enkya ya leero, okubaawo ng’awa ensala ye. Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Ssalongo Erias Lukwago, agamba nti kkooti za Uganda, zongedde okusaawo embeera n’okulaga nti kati kizibu okuyimbula Besigye olw’okutya okunyiza abakulu – https://www.youtube.com/watch?v=dXEyVEkEnnc&t=38s