Omwana abadde anoonya School Fees, okuddayo okusoma S5 afiiridde mu Kampuni ya bannansi ba China ekola empapula eya Rhino Company Limited.

Kkampuni eno, esangibwa ku kyalo Kasenge B Muluka gwe Mbalala mu ggombolola ye Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

Omwana afudde Gerlad Mukisa Waswa myaka 19, abadde mutuuze ku kyalo Wataayi mu Tawuni Kanso y’e Namataba nga y’omu ku bayizi, abakola ebigezo bya S4 omwaka oguwedde ogwa 2024 era nga yasobodde okuyita ebigezo nga yayitidde mu “Result 1”.

Mu Kkampuni, abadde anoonya ‘School Fees’ okuddayo okusoma S5 wabula kigambibwa bwe yabadde akola ku ssaawa nga 5 ez’okumakya olunnaku olw’eggulo, yaseeredde nagwa mu kyuma ekigaaya empapula era ne kimusalala okutuusa lwe yafudde.

Maama w’omwana Nalongo Annet Nakachwa wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti mutabani we, abadde muyizi ku Namataba SSS era yabadde amaliridde okuddayo okusoma.

Ate Barnabas Mukwaaya, taata w’omugenzi, atabukidde Kampuni, okutwala omulambo mu ggwanika e Mulago nga tebasobodde kulinda famire, okwekeneenya engeri mutabani we gye yafuddemu.

Mungeri y’emu atabukidde abakulu ba Kampuni, okwagala okubawa ssente miriyoni 4 okuziika mutabani waabwe ate ng’abo, baakoze bajjeti,  ya miriyoni 7, omuli okuliisa abantu, okutambuza omulambo okuva e Mulago, okutwalibwako e Mukono ku kyalo gy’abadde awangalira ssaako ne Mityana gye bagenda okuziika.

Embeera eyo, abatuuze n’abakulembeze batabudde abakulembeze ne basaba Poliisi okunoonyereza okuzuula ku ngeri omutabani gye yafudde.

Abakulembeze bagamba nti mu kampuni, abakozi bakolera mu mbeera mbi, ekivaako n’okufa – https://www.youtube.com/watch?v=dXEyVEkEnnc&t=38s