Ab’ekitongole ky’obwannakyewa ekya Incredible Youth International, ekisomesa abavubuka ku ngeri y’okukyusa endaba y’ebintu, bagamba nti obutamanya, y’emu ku nsonga lwaki, bangi ku baana abasomyeko ssaako n’abo abafundikidde emisomo gyabwe, bangi bakyatambula okunoonya emirimu.

Bano, bagamba nti bangi ku bavubuka betaaga okubangula, okufuna ak’obuntu ssaako n’ebyo, ebyetaagisa, ebiyinza okubayamba mu bulamu bwa buligyo.
Embeera eyo, y’emu ku nsonga lwaki bazzeemu okutekateeka olukungaana, okuddamu okusomesa abavubuka ku mpagi 4 eziyinza okukyusa obulamu bw’omuntu omuli
– Enjogera n’abantu
– Obuyiiya
– Okwefumintirizza
– Enkolagana eyawamu
Olukungaana, lutwaliddwa ku kitebe kyabwe ekya Incredible Youth international e Mukono nga 20, March, 2025.

Brian James Ntwatwa, akulira Incredible Youth international, agamba nti entekateeka eno, asobodde okuyamba bangi ku bavubuka okukyusa endaba y’ebintu mu bulamu bwabwe.
Agamba nti abavubuka balina okukula nga basobola okwekolera ku bintu byabwe okusinga okulinda abazadde okubayamba oba okulinda Gavumenti.
Ntwatwa agamba nti balina okutandiika okuyamba abaana okwezuula nga bakyali bato.