Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP), basajja ba Bobi Wine abaakwatiddwa ne batwalibwa e Masaka, baguddwako emisango egy’enjawulo omuli omwenyigira mu kubba n’eryanyi, okuba abantu ssaako n’emisango emirala.
Abakwate nga bakulembeddwamu Achileo Kivumbi, Mugumya Gadaffi ne Wakabi Grace amanyikiddwa nga Smart wa Bobi, Poliisi agamba nti erudde nga ebanoonya, oluvanyuma lw’okuzza emisango nga 18, May, 2024 bwe baali e Lwengo ku mukolo gw’okuziika Ssekasamba Pasikaali ku kyalo Manja mu ggoombolola y’e Kiwangala.

Okusinzira ku Twaha Kasirye, omwogezi wa Poliisi mu bendobendo ly’e Masaka, abakwate essaawa yonna bagenda kutwalibwa mu kkooti.
Twaha agamba nti bonna 3 basajja ba Bobi Wine baludde nga banoonyezebwa okuva mu May, 2024 – https://www.youtube.com/watch?v=t3pkxnzgGDM