Abakyala ku kyalo Namawojjolo mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono, bakaaba olw’ekikwata abakazi, ekisukkiridde ku kyalo kyabwe.
Abakyala bano, bagamba nti bangi ku banaabwe basobezebwako wakati w’essaawa 11-12 ez’okumakya ssaako n’ekiro, okuva ku ssaawa 2 okudda waggulu.
Mungeri y’emu bagamba nti abasajja abakola ekikolwa ekyo, olumala okusobya ku bakyala, nga babasonseka ebisubi mu bitundu by’ekyama.
Abakyala, bagamba nti enkulakulana mu kitundu kyabwe omuli kkampuni okweyongera ku kyalo, y’emu ku nsonga lwaki abasobya ku bakyala, bagutwala ng’omukisa olw’abakozi abakeera ennyo nga bagenda kumirimu ssaako n’akawungeezi nga banyuse.
Basabye, abakulembeze okuyingira mu nsonga eno, abakulira kkampuni, bakendeze ku budde, abakozi bwe balina okutuukira ku mirimu ssaako n’okubakkiriza okudda awaka nga bukyali.
Ate abazadde abamu, bagamba nti olw’embeera eyo, n’abaana abato, nabo tebakyasoma olw’okutya okusobezebwako – https://www.youtube.com/watch?v=BS2hm3tK9_Y