Abatuuze ku kyalo Kitengesa mu Division y’e Nyendo Mukungwe e Masaka, bawanjagidde ekitongole ekya Poliisi okunoonyereza ku kyawalirizza taata omuto, okutta omwana wa muganda we.
Omutemu Deo Mwebe, yakutte ejjambiya, natemateka omwana wa muganda we Sophia Nantume myaka 16, okutuusa lwe yamusse.
Omugenzi Nantume abadde mu S3 ku Buddu Islamic Secondary School.
Mwebe oluvanyuma lw’okutta omwana naye, yattiddwa abatuuze nga yakubiddwa emiggo.
Abamu ku batuuze bagamba nti Mwebe alabika yabadde tali yekka nga yabadde amaze okunywa enjaga
Omu ku baana eyabadde mu kisenge ne Nantume, agamba nti Mwebe yagenze mu kisenge okwebaka n’ekiso.
Maama w’omugenzi Sophia Nantume agamba nti Nantume ye mwana yekka omuwala gw’abadde alina.
John Bosco Birungi, akulira ebyokwerinda ku kyalo, agamba nti Mwebe yasangiddwa mu nsiko nga yekwese n’ejjambiya kyokka abatuuze kwe kumutta.
Wabula Twaha Kasirye, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza wabula avumiridde eky’okutwalira amateeka mu ngalo, abatuuze okutta omutemu Mwebe.
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.