Eby’okutulugunya Muvawala biranze
Abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu bavumiridde eky’okuwamba abantu mu ggwanga lino ate ne batulugunyizibwa mu ngeri emenya amateeka.

Bano okuvaayo, kidiridde okuwamba Charles Bukenya Muvawala, akola nga ssentebe wa bannayuganda abawangalira mu ggwanga erya Canada.

Kigambibwa yawambibwa okuva ku bbaala ya Supremacy e Nakulabye bwe yali agenda ku ATM ya Centenary.
Mu kiseera nga bannansi bakyebuuza ani yakulembeddemu okuwamba Muvawala, nate ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde yazuuliddwa ng’asuuliddwa mu kitoogo e Buliisa mu Bunyoro.

Dr. Livingstone Ssewanyana, akulira Foundation for Human Rights Initiative, agamba nti tewali nsonga yonna lwaki munnayuganda ayinza okuwambibwa.

Ssewanyana agamba nti buli munnayuganda alina eddembe okuwagira ekibiina kyonna oba omuntu yenna, nga kiswaza mu kiseera kino, okulaba nga bannayuganda abatulugunyizibwa, bali ku ludda lumu n’okusingira ddala mu kibiina ki NUP.

Mu ngeri y’emu Ssewanyana asabye Gavumenti okunoonyereza okuzuula abantu bonna abali mu kikolwa ekyo, eky’okutulugunya eddembe ly’obuntu.
Ate omwogezi w’amaggye Maj. Gen. Felix Kulayigye, agamba nti bakooye Katemba mu nsonga z’okutulugunya abantu mu ggwanga.

Maj. Gen. Kulayigye agamba nti kyewunyisa, Muvawala okusuulibwa e Buliisa mu kiseera nga Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP, David Lewis Rubongoya ali Hoima – https://www.youtube.com/watch?v=S2NL_g2GqPI