Poliisi mu Kampala, erangiridde okunoonya abantu bonna, abenyigidde mu kubba, ebintu omuli TV, omwenge ssaako n’ebintu ebirala mu kaseera ak’okuzikiza omuliro wali ‘Sunrise Hotel’ e Namayuba wiiki ewedde.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, olw’abantu okuyambako Poliisi okuzikisa omuliro, y’emu ku nsonga lwaki, basobodde okutaasa obulamu bw’abantu bangi.
Rusoke agamba nti waliwo abasiwuuse empisa ne badda mu kubba omwenge ne banywa mu kaseera ak’okuzikiza omuliro era bonna banoonyezebwa ku misango gy’obubbi.
Poliisi egamba nti abantu okuvaayo okuyambako Poliisi okuzikiza omuliro, kikolwa kirungi naye ate abantu okwenyigira mu kubba, kikolwa kikyamu era abantu ng’abo, balina okunoonyezebwa.
Omuliro gwatta abantu babiri (2) okuli munnansi wa Tanzania – Mwindadi Shineni ne South Sudan – Akot Akol Arop Chan.
N’okutuusa kati, Poliisi ekyanoonya okuzuula ekituufu ekyavuddeko omuliro – https://www.youtube.com/watch?v=t3pkxnzgGDM