Poliisi e Jinja, etandiise okunoonyereza, ekyasindikiriza omusajja okudda ku mukyala we namutta ssaako ne mutabani we myezi 9.

Edirisa Isabirye nga musajja abadde avuga bodaboda myaka 25 nga mutuuze we Katende Triangle e Bugembe, mu kibuga Jinja, mu kiro, ssaawa 8, yakutte sigiri ng’eriko omuliro, nagiteeka wansi w’ekitanda, okusobola okutta mukyala we Mirabu Kakazi myaka 17 n’omwana waabwe Mirabu Munana myezi 9.

Edirisa Isabirye n’omuwala Mirabu Kakazi

Olw’omuliro ogwabadde omungi, maama n’omwana bafiiriddemu mu nnyumba.

Oluvanyuma lw’omukyala n’omwana okufa, n’omusajja yasobodde okwetta, nga yasobodde okweyambisa amasuuka.

Mirabu Munana attiddwa

Wabula James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira – Jinja, agamba nti Poliisi, wakati mu kunoonyereza, esobodde okuzuula nti Isabirye  n’omukyala baludde nga balina obutakaanya era nga basiiba mu kulwana omuli n’omusajja okulumiriza omukyala nti asukkiridde okusanyusa abasajja nga buli amusekere ng’amuwa ebyalo nga yetabaalira.

Ate abatuuze bagamba nti Poliisi erina okunoonyereza ennyo kuba emyaka gy’omuwala giraga nti yafumbirwa akyali mwana muto, ekiraga nti yasobezebwako. – https://www.youtube.com/watch?v=BS2hm3tK9_Y