Eyali mukyala w’omugenzi Yasin Kawuma, kabuze kata okulukuta amaziga, bw’abadde awanjagira Gavumenti ennaku gyayitamu bukya bba attibwa.
Yasin Kawuma eyali ddereeva wa Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu, yattibwa, nga yakubwa amasasi, nga 13, August 2018, bwe baali mu Kampeyini za Monisipaali ze Arua mu kibuga Arua, Kasiano Wadri zeyawangula nga kigambibwa, abawagizi ba Kasiano Wadri bakasukira emmotoka z’omukulembeze w’eggwanga lino amayinja nga mu kiseera kyo, Kampeyini zaali zikulembeddwamu Kyagulanyi wansi w’ekisinde ‘People Power’.
Wadri yafuna obululu 6,421 ate Nusura Tiperu eyali akutte kaadi y’ekibiina ki NRM, yakwata kyakubiri n’obululu 4,798.
Wabula Nabbanja, asobodde okunoonya mukyala w’omugenzi Annet Nansubuga, nga mu kiseera kino, apangisa Lusanja, mu Tawuni Kanso y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso.

Nansubuga agamba nti bba Yasin Kawuma bukya attibwa, embeera yakyukira ddala mu kiseera kino
– Abaana tebakyasoma
– Balandiloodi bamugoba olw’okubulwa ensimbi
– Nga ne ky’okulya, oluusi basula.
Nga bangi ku mikwano gye, basuubiza bingi ddala naye byonna byakoma mu bigambo.
Wabula Ssaabaminisita Robinah Nabbanja asuubiza okumugulira ettaka ate bamuzimbireko n’ennyumba, kwanakuliza abaana – https://www.youtube.com/watch?v=pqgJwpYnr_0