Poliisi e Kamuli ekutte maama Mulungi Zainabu myaka 21 omutuuze ku kyalo Nalinaibi mu ggoombolola y’e Nawanyago e Kamuli ku misango gy’okutta muwala we Kabawo Hadija namuziika.
Kigambibwa omwana yamuziika ku Sande nga 3, March, 2025.
Okunoonyereza kulaga nti oluvanyuma lw’omwana okubula okumala ennaku 2, maama yategeeza abatuuze nti omwana yali atwaliddwa mu ddwaaliro okufuna obujanjabi kuba yali mulwadde.
Maama Mulungi yavudde awaka era yabadde agezaako okudduka, Poliisi yamukwatidde mu Monicipaali y’e Kamuli.
Ku Lwokutaano nga 14, March, 2025 ku ssaawa nga 3 ez’okumakya, abatuuze ku kyalo baavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okuwulira ekivundu ku kyalo nga kyeyongedde obungi.
Wakati mu kunoonyereza, kwekuzuula entaana nga mulimu omuntu eyaziikiddwa.
Poliisi yasobodde okuyitibwa era omulambo gwagiddwaayo Poliisi y’e Kamuli ne gutwalibwa okwekebejjebwa.
Kigambibwa omukyala Mulungi yasse omwana n’okuziikibwa, mu kiseera nga bba Kabawo Asuman taliwo, ali mu maka ag’okubiri.
ASP Kasadha Michael, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North, agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekyavudde omukyala okuziika muwala we – https://www.youtube.com/watch?v=tUXMtau7po8
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.