Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alangiridde Kampeyini, y’okusimbawo abakulembeze mu ggwanga lyonna.
Kyagulanyi agamba nti obuwanguzi bwe Kawempe North wakati mu byokwerinda, kabonero akalaga nti buli kimu kisoboka.


Ng’omukulembeze, agamba nti Luyimbazi Elias Nalukoola okufuna obululu 17,764 nga Faridah Nambi owa National Resistance Movement (NRM) afunye 8,593, kabonero akalaga nti bannayuganda balina essuubi eri ekibiina kyabwe n’omulamwa gwabwe ogw’okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.
Bobi Wine bw’abadde ayogerako eri bannakibiina e Makerere – Kavule, asabye abavubuka okwenyigira mu by’obufuzi n’okwesimbawo kuba bangi betaaga enkyukakyuka.
Eri abavubuka b’omu Ghetto, Bobi Wine agamba nti balina okwewala abantu bonna, abagenda okubakozesa nga babawa obusente kuba mu kiseera kino, kizibu okufuna omuvubuka ayinza okusinga Paddy Sserunjogi (Sobi) oba Mando Zebra amaanyi.
Agamba nti abavubuka bonna balina okwegata awamu, okufuna enkyukakyuka mu bukulembeze, kuba kisoboka okulwanyisa ebbula ly’emirimu mu ggwanga lyonna.
Ate eri abakulembeze abali mu buyinza, Bobi Wine abasabye okwewala okukola ebintu ebiswaza offiisi zaabwe nga bakola ebintu ebimenya amateeka. Agamba amateeka galina okulamula abantu abo, essaawa yonna singa tebeddako – https://www.youtube.com/watch?v=DE6zlcv56AU