Omulamuzi wa kkooti asookerwako e Bushenyi, akkiriza omukyala Pathy Mbabazi owa National Unity Platform (NUP) okweyimirirwa.
Mbabazi yakwatibwa nga 3, March, 2025 ku kyalo Katungu Cell mu ggoombolola y’e Ishaka e Bushenyi Ishaka ku bigambibwa nti yakozesa ebigambo ebisiga obukyayi ku Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ne mutabani we era omuduumizi w’amaggye Muhoozi Kainerugaba.
Olunnaku olw’eggulo, Mbabazi yatwaliddwa mu kkooti mu maaso g’omulamuzi Emmanuel Niyokwizera.
Omulamuzi Niyokwizera agamba nti Mbabazi yasobodde okutuukiriza ebisaanyizo omuli okuleeta abantu abatuufu era y’emu ku nsonga lwaki yakkiriza okusaba kwe, okweyimirirwa ku ssente emitwalo 10 (100,000) ez’obuliwo ate abamweyimiridde obukadde 5 buli omu ezitali za buliwo.
Mungeri y’emu Mbabazi alagiddwa okudda mu kkooti nga 16, April, 2025.
Okuyimbulwa, omulamuzi yasinzidde ku nsonga ez’enjawulo okuba nti mukyala muzadde alina abaana ate gwe mulundi gwe ogwasoose okukwatibwa – https://www.youtube.com/watch?v=t3pkxnzgGDM
Download the Galaxy FM 100.2 App and listen to the radio while on the move.