Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonya abantu bonna abagambibwa okutigomya ekibuga Kampala n’emirirwano

Mu nnaku 3, esobodde okuyoola abantu 101 n’okusingira ddala abavubuka.

Mande mu kiro – 44 (Namugongo Jjanda, Kapeera, and Kira taxi park ghetto)

Lwokubiri ekiro – 42 (Kyebando, Mulimira, Kamwokya ne Bukoto)

Lwokusatu ekiro – 15 (Nsawo zone mu Kira)

Mu 15 abakwatiddwa mu kiro mu Nsawo, Poliisi egamba nti kuliko 3 abaludde nga banoonyezebwa mu bumenyi bw’amateeka okuli

– Kabogo Farook

– Matovu Lawrence

– Kaya Muhammed

Poliisi egamba nti obubbi, bubadde busukkiridde omuli n’okweyambisa Peeva nga bakuba abantu nga n’abamu battiddwa.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso okunoonya abantu bonna abakyamu abatigomya abantu – https://www.youtube.com/watch?v=UjBNO1PqyMw&t=9s