Poliisi e Kamuli ekutte omusajja Balisanyuka Jonan ku misango gy’okutta omwana agaanye okudduka, nga banne bagezaako okubba ekikajjo ku kyalo Kibeto-Buyima mu ggoombolola y’e Wankoole mu disitulikiti y’e Kamuli.

Omwana akubiddwa, Bakaki Mathias, myaka 15, abadde muyizi ku Five star Nursery and Primary school e Luzinga era afudde bakamutuusa mu ddwaaliro, okufuna obujanjabi.

Kigambibwa ku ssaawa nga 11 ez’akawungeezi, abaana mu kudda awaka, basobodde okusanga entuumu y’ebikajjo nga bikuumwa Balisanyuka, abaana ne bagezaako okubbako ekikajjo kimu.

Balisanyuka bw’alengedde nga basika ekikajjo, mikwano gya Bakaki, basobodde okuduuka.

Wabula Bakaki asigaddewo, Balisanyuka namukubakuba, paka bw’agudde wansi.

Okumuyoola okumutwala mu ddwaaliro, ng’amaze okufa.

ASP Kasadha Micheal

ASP Kasadha Micheal, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga North agamba nti omukwate ali ku Poliisi y’e Kamuli – https://www.youtube.com/watch?v=t3pkxnzgGDM