Poliisi y’e Kira, eguddewo omusango gw’okuwa omuntu obutwa mu bbaala ya Mezo Noir e Kololo mu Kampala, ekyavuddeko omuwala Martha Ahumuza Murari okufa.

Martha yazaalibwa 13, Febuary, 2002 nga yafudde ku Lwokusatu ekiro ku myaka 23.

Okunoonyereza kulaga nti Martha yayingira mu bbaala ku Lwokusatu ssaawa nga 8 ez’ekiro.

Omugenzi Martha

Okugenda mu bbaala, yali agenze kusisinkana mukwano gwe Mugabo Edward, akola nga ‘Cashier’ mu Mezo ne batandiika okwewaamu.

Wabula ku ssaawa 9:30 ez’ekiro okusinzira ku kkamera z’ekiro, baavudde mu bbala munda abantu webatuula, ne bagenda mu offiisi ya manejja munda awatali kkamera, ng’abamu balowooza bagenze kwesa mpiki.

Mu sitetimenti ku Poliisi, mukwano gw’omugenzi Mugabo agamba nti nga bakayingira mu offiisi ya Manejja, omuwala Martha yazirise.

Ng’omuntu omulala yenna, Mugabo yafunye okutya era amangu ddala yakubidde muganda we Kalanzi Joseph essimu okumuyambako okutwala Martha mu ddwaaliro.

Kalanzi bwe yatuuse, Martha yatwaliddwa mu ddwaaliro Kampala Hospital ne bamusa ku byuma ebiyambako omuntu yenna okussa, oluvanyuma ne bategezebwa nti yabadde afudde.

Mu kiseera kino nga bakyalinze alipoota y’eddwaaliro, Poliisi egamba nti Mugabo Edward ne Kalanzi, bali ku Poliisi y’e Kira okuyambako mu kunoonyereza.

Baguddwako emisango gy’okuwa omuntu obutwa.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Mezo egenda kusigala nga nzigale okutuusa nga bafundikidde okunoonyereza. Martha agenda kuziikibwa ku Ssande nga 23, March, 2025 ku kyalo Nyarubanga e Mbararahttps://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=3s