Taata w’omugenzi Martha Ahumuza Murari, Sezi Murari agamba nti teri kutuula okutuusa nga bazudde ekituufu ekyavuddeko omwana we okufa.

Martha yazaalibwa 13, Febuary, 2002 nga yafudde wiiki ewedde ku Lwokusatu ekiro ku myaka 23.

Okunoonyereza kwa Poliisi kulaga nti Martha yayingira mu bbaala ku Lwokusatu ssaawa nga 8 ez’ekiro.

Okugenda mu bbaala, yali agenze kusisinkana mukwano gwe Mugabo Edward, akola nga ‘Cashier’ mu Mezo Noir e Kololo mu Kampala ne batandiika okwewaamu.

Wabula ku ssaawa 9:30 ez’ekiro okusinzira ku kkamera, baavudde mu bbaala munda abantu webatuula, ne bagenda mu offiisi ya manejja munda awatali kkamera, ng’abamu balowooza bagenze kwesa mpiki.

Mu sitetimenti ku Poliisi, mukwano gw’omugenzi Mugabo agamba nti nga bakayingira mu offiisi ya Manejja, omuwala Martha yazirise.

Ng’omuntu omulala yenna, Mugabo yafunye okutya era amangu ddala yakubidde muganda we Kalanzi Joseph essimu okumuyambako okutwala Martha mu ddwaaliro.

Kalanzi bwe yatuuse, Martha yatwaliddwa mu ddwaaliro Kampala Hospital ne bamusa ku byuma ebiyambako omuntu yenna okussa, oluvanyuma ne bategezebwa nti yabadde afudde.

Mu kiseera kino nga bakyalinze alipoota y’eddwaaliro, Poliisi egamba nti Mugabo Edward ne Kalanzi, bali ku Poliisi y’e Kira okuyambako mu kunoonyereza.

Olunnaku olw’eggulo, Martha yaziikiddwa ku kyalo Nyarubanga e Mbarara.

Wabula taata wa Martha bwe yabadde ayogerako eri abakungubazi,

– Yasabye abantu bonna okukomya okumala gawandiika ku nfa ya muwala we Martha.

– Agamba bwe kiba abantu balina enjawukana mu byobufuzi, mukomye okubireeta mu kaseera akazibu ak’okufa.

– Mukomye okutambuza obulimba ku nfa ya muwala we kuba kiyinza okutaataganya okunoonyereza kwa Poliisi.

– Agamba waliwo akaseera k’ebyobufuzi naye kano, si kaseera ka byabufuzi ku nfa ya muwala we.

– Bwe kiba bagaanye okweddako, waliwo n’omusango gw’okukozesa obubbi omutimbagano gwasobola okuggulawo.

– Agamba nti bakyalinda alipoota y’abasawo okuzuula ekituufu ekyavuddeko omwana we okufa.

Wabula agaliwo galaga nti omusaayi gwetukuta ne gukwata ku bwongo ne bamusa ku byuma ng’obwongo bulaga nti bufudde naye ng’akyali mulamu.

Mu kiseera kino, agamba nti wadde yaziikiddwa, alipoota y’abasawo egenda kuzuula ekituufu ekyavudde omwana waabwe okufa ku myaka emito 23 – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=30s