Kkooti enkulu mu Kampala, erangiridde ku Lwokutaano nga 4, April, 2025, okuwa ensala yaayo ku by’okuyimbula munnamateeka wa Eron Kiiza oba nedda.
Eron Kiiza, munnamateeka wa Dr. Kizza Besigye, yakwatibwa wali mu kkooti y’amaggye e Makindye ku misango gy’okunyooma kkooti era bwatyo ne bamusiba ebbanga lya myezi 9 mu kkomera e Kitalya.
Wabula olwa kkooti ensukkulumu, kumpi okujjawo kkooti y’amaggye ne munnamateeka Kiiza, yaddukira mu kkooti enkulu, ng’asaba kkooti emuddize eddembe lye, ayimbulwe.
Mu kkooti, bannamateeka ba Kiiza nga bakulembeddwamu Nicholas Opiyo, bagamba nti Eron Kiiza yetaaga eddembe lye wabula omulamuzi asuubiza okuwa ensala ye, nga 4, April, 2025.
Mu kkooti olwaleero, bannamateeka bazze nga bangi ddala okuli omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, Martha Karua, akulembeddemu, abavudde mu ggwanga lya Kenya, amyuka Pulezidenti wa Uganda Law Society Anthony Asiimwe n’abalala.
Bannamateeka ba Eron Kiiza, eyakamala mu kkomera ennaku 76, balina essuubi nti ku lunnaku olwo, nga 4, April Omulamuzi Michael Elubu agenda kumuyimbula. Olunnaku olwaleero, Eron Kiiza ayambadde essaati eya ‘Bululu’, okuli ebigambo “Eron Kiiza 002/25,” – https://www.youtube.com/watch?v=t3pkxnzgGDM