Poliisi e Masaka ekutte abantu 12, ku misango gy’okuwamba omwana myaka 7 okuva ku kizinga kye Dimo ku Lwokutaano nga 21, March, 2025, ku ssaawa nga 1 ey’okumakya.

Omwana yatwalibwa abasajja 2 nga Pikipiki ekika kya Bajaj bwe yali agenda kussomero.

Abamu ku bakwate

Abawambi, bakubira abazadde essimu nga betaaga ssente emitwalo 20 era abazadde ne basindika ensimbi.

Wabula Poliisi yasobodde okweyambisa obukodyo obwenjawulo okuddamu okusuubiza okuwa abawambe obukadde 5 era omwana nasuulibwa ku GAZ petrol station e Kalisiizo nga Poliisi yatuseewo dda.

Omwana azuuliddwa

Mu kiseera kino Poliisi ekutte

Eyabadde avuga Pikipiki – Lutaya Nelson

Eyabadde mu lukwe – Maria Gorrete Nambajjo

– Namugamba Prossy

– Namukwaya Rosemary, maama w’omukwate omukulu

– Serugo Matia

– Kasumba Yuda

– Sikyomu Tonny,

– Yawe Robert

– Kiwendo Paul,

– Hussein Muhammad

– Masereka Dennis – Avuga takisi, nga yabadde akkiriza okutambulizaamu omwana.

– Wamala Emma – Kondakita wa Takisi

Tusibira Pius

Poliisi egamba nti eyakulembeddemu okupanga olukwe okuwamba omwana Tusibira Pius mu kiseera kino akyaliira ku nsiko.

Omwogezi wa Poliisi e Masaka Kasirye Twaha agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=348s