Omubaka wa Palamenti akiikirira abantu b’e Kikubamutwe mu Palamenti y’eggwanga, akigudde era aswadde enkya ya leero.
Omubaka Kabojjamuti asangiddwa lubona ng’ali mu kikolwa n’abakyala 2 mu loogi mu bitundu bye Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso.
Omukozi ku loogi ategerekeseeko erya Jenny, agamba nti omubaka yatuuse n’abakyala 2 era ne basaba ekisenge kimu.
Mu kusooka, omubaka yagambye nti baliko ensonga zebagenda okutesaako ng’abantu kyokka oluvanyuma lw’eddakika 40, yazzeemu okuwulira ng’omubaka ali mu kikolwa n’abakyala.
Omu ku bakyala, ali myaka 25 nga kigambibwa abadde yakamala okusoma ku Yunivasite emu mu Kampala.
Ekivuddeko embeera okusajja, kigambibwa bba w’omukyala omukulu, asobodde okulondoola emmotoka y’omukyala kyokka aguddewo ekigwo, bw’asangiddwa ng’ali mu loogi.
Omubaka Kabojjamuti asobodde okufuna omukisa okudduka wabula abakyala bafulumye loogi wakati mu kuswala.
Olunnaku olwaleero, nga 1, April, lunnaku lwa kulimba mu nsi yonna (Fool’s Day) kati n’emboozi yonna ya bulimba kuba n’omubaka Kabojjamuti mu Uganda talimu – https://www.youtube.com/watch?v=BS2hm3tK9_Y