Abaludde nga bakuba ssente ku bazungu bakwatiddwa
Poliisi mu Kampala ekutte abasuubuzi 2 okuli Kizito Jonathan amanyikiddwa nga Jona myaka 27 ne Kyalimpa Titus myaka 20 nga bonna batuuze mu zzooni y’e Kawaala Central, Rubaga.
Abakwate bali ku misango gy’okufera omuzungu John Bridges ssente £5,970 (28,195,832) nga zaali zakuyamba abaana bamulekwa.

Mu sitetimenti ku Poliisi ziraga nti baweebwa ssente wakati wa 2020 ne 2024 nga zigenda okuyamba abaana bamulekwa mu ‘the Children of God Orphanage Uganda’.
Oluvanyuma lw’okufuna ssente, baalemwa okuyamba abaana ne badda mu kukola ebintu byabwe ng’abantu.

Okusinzira ku Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, abakwate baguddwako emisango gy’okufuna ssente mu lukujjukujju.
Onyango agamba nti abakwate essaawa yonna bagenda kubatwala mu kkooti ya Buganda Road – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=1113