Poliisi mu y’e Katwe ekoze ekikwekweeto, mwekwatidde abantu, abagambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze mu kubba.
Mu kikwekweeto Poliisi ekutte
– Jjingo Shafik amanyikiddwa nga Fik Gaza
– Magoola Najibu
– Mutuba David (Mavin Gaza)
– Zziwa Charles (Mzungu).
Mu kwekebejja amaka gaabwe, wasangiddwayo
– Amajjambiya
– Ebyambalo by’amaggye
– N’ebiragalaragala.
Kigambibwa Fik Gaza, abadde asukkiridde okweyambisa amakaage, okuzibira ababbi, abatigomya ekyalo.
Ate kizuuliddwa nti Zziwa Charles, abadde yadduka ku Poliisi nga yali akwatiddwa ku misango gy’obutemu.
Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza kutandikiddewo – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=1118s