Poliisi egamba nti eby’okunoonyereza ku nfa ya Martha Ahumuza Murari, kukyagenda mu maaso newankubadde abakwate bayimbuddwa.

Martha, yafiira mu ddwaaliro lya Kampala Hospital mu kiro ekyakeesa ku Lwokuna nga 20, March, 2025, oluvanyuma lw’okugibwa mu bbaala ya Mezo Noir e Kololo mu Kampala nga tamanyi biri ku nsi.

Martha yaziikiddwa ku kyalo Nyarubanga e Mbarara.

Wabula Poliisi egamba nti abakwate okuli

Mugabo Edward eyali mukwano gw’omugenzi, omukwasi w’ensimbi ku Mezo

Kalanzi Joseph, mukwano gwa Mugabo, wadde baayimbuddwa, ensonga zikyagenda mu maaso.

Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti abakwate okumala ennaku nga bali mu kaduukulu ka Poliisi, y’emu ku nsonga lwaki, Ssaabawaabi wa Gavumenti yabalagidde bateebwe.

Poliisi egamba nti okubulwa alipoota y’abasawo nga waliwo ne bibulako mu kunoonyereza, y’emu ku nsonga lwaki baayimbuddwa – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=1122s