Kkooti enkulu ewozesa ba kalintalo eyongeddeyo okuwulira emisango gy’omugenzi Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana.
Ssegirinya, eyali omubaka wa Kawempe North ate Ssewanyana, mubaka wa Makindye West.
Bano nga bali ku misango omuli egy’obutemu, okulya mu nsi olukwe, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju ssaako n’okugezaako okutta abantu mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021, ekyaleke abasukka 20 nga battiddwa.
Wabula nga 17, March, 2025, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lwasaba omulamuzi Alice Komuhangi okukyusa mu mpaaba n’obujjulizi okugyamu Ssegirinya eyafa nga 8, January, 2025 kuba kati mugenzi.
Omulamuzi yabalagira okudda mu kkooti enkya ya leero.
Wabula mu kkooti, oludda oluwaabi lugamba nti fayiro yakwasibwa dda ssaabawaabi wa Gavumenti, nga balina okulinda agyekeneenya, okusalawo ekiddako.
Omulamuzi asinzidde ku nsonga ezo, okwongezaayo omusango okutuusa nga 12, May, 2025, okulaba nga empaaba n’obujjulizi bikyusibwa.
Amangu ddala nga bikyusiddwa, omulamuzi alina okuddamu okubasomera buto emisango era amangu ddala n’okuwulira omusango kutandikirewo.
Munnamateeka Chrysostom Katumba agamba nti balina essuubi okuwangula omusango ogwo – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=1124s