Bannansi mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo bakyali mu maziga oluvanyuma lw’amazzi okutta abantu baabwe.
Okuva ku Lwokutaano, enkuba ebadde etonnya n’okusingira ddala mu kibuga Kinshasa era bakazuula emirambo 33 omuli n’abaana abato.
Amaka agali mu bukadde 17, gegali mu kibuga Kinshasa wabula kigambibwa batawanyizibwa nnyo amazzi agava mu Congo river.

Bangi ku batuuze bagamba nti okulwawo okulongoosa emyala, y’emu ku nsonga amazzi, gabadde galina okudda mu bantu.
Amayumba mangi gasigadde ku ttaka, ebintu byatwaliddwa amazzi, emmotoka ezimu zayingiddemu amazzi.

Mu kiseera kino okunoonya emirambo gy’abantu abamu, kugenda mu maaso.
Ate Gavumenti esabye abantu bonna abali mu ntobazi okuvaayo kuba bayinza okufiirayo lw’amazzi – https://www.youtube.com/watch?v=BrW-WutBAgE&t=1124s