Omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti y’eggwanga, Joel Ssenyonyi, ateze ekitimba, mwagenda okukwatira banne ku ludda oluvuganya, abagamba nti benyigidde mu kutwala ssente obukadde 100, 100.

Kigambibwa, ssente zabawereddwa, okubasiima okuwagira eky’okuyisa etteka, okugyawo ekitongole ky’emwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) ssaako n’okubatekateeka okuwagira ebbago ly’okuzaawo kkooti y’amaggye.

Wabula olunnaku olw’eggulo, amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, yasobodde okutegeeza Palamenti nti ebya ssente ezogerwako, mboozi y’amalwa era bulimba obwagala okusiiga Palamenti enziro.

Hon Kivumbi

Mu kaseera ng’ebigambo bikyatambula, ab’oludda oluvuganya, bafulumizza ekiwandiiko, buli mubaka ku ludda lwabwe, kwebagenda okuteeka omukono, okulaga nti tannaba kutwala ssente ezo, era tebasuubira kuzitwala.

Ku lwa Ssenyonyi ataliwo, omusigire we, era omubaka we Butambala Muwanga Kivumbi, agamba nti omukulembeze yenna, anagaana okuteeka omukono ku kiwandiiko, kabonero akalaga nti yalidde ssente obukadde 100 ez’ekibi – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=369s