Kkooti enkulu mu Kampala, egobye okusaba kwa Dr.Kizza Besigye ne Hajji Obeid Lutale, okweyimirirwa, bawoze nga bava maka gaabwe.
Wakati mu kkooti ebadde ekubyeko, omulamuzi Rosette Comfort Kania akaanyiza ne bannamateeka ba Besigye nti baasobodde okuleeta abantu abafuufu, okweyimirirwa.
Nga 14, March, 2025, Besigye, yasobola okuleeta abantu omuli
– Ibrahim Ssemujju Nganda – Omubaka wa Monicipaali y’e Kira
– Francis Mwijukye – Omubaka wa Monicipaali y’e Buhweju
– Dr Nicholas Kamara – Omubaka wa Monicipaali y’e Kabale
Mu ngeri y’emu ne Hajji Lutale yasobodde okuleeta abantu abatuufu omuli mukyala we ssaako ne muwala we.
Omulamuzi Kania era akaanyiza nti Besigye ne Lutale, bakuliridde mu myaka ate nga balina amaka agamanyiddwa.
Wabula bw’abadde awa ensala ye, Omulamuzi Kania awadde ensonga eziwerako lwaki agobye okusaba kwabwe era agambye nti
– Emisango egibavunaanibwa gya naggomola egy’okulya mu nsi olukwe
– Emisango gyadizibwa mu nsi ez’enjawulo ng’oludda oluwaabi, lwetaaga obudde okunoonyereza ssaako ne ssente okutambula mu nsi ez’enjawulo okufuna obujjulizi.
– Mungeri y’emu omulamuzi agamba nti singa bayimbulwa, bayinza okutaataganya okunoonyereza.
Besigye nga yakamala ku limanda ennaku 147, kkooti olugobye okusaba kwe, atandikiddewo okuyimba akayimba, “We shall overcome one day”.
Ensala y’omulamuzi, esomeddwa omuwandiisi wa kkooti, Salaam Godfrey Ngobi
Oluvudde mu kkooti nga bonna banyogoze, Omuloodi Ssalongo Erias, munnamateeka, agamba nti kati ensonga zivudde ku nsonga y’amateeka nezikwata ensonga y’ebyobufuzi.
Lukwago agamba nti ensalawo ya kkooti, yabulabe nnyo mu nsonga y’amateeka – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=369s