Omulamuzi wa kkooti ewozesa emisango gy’abalyake n’abali b’enguzi Jane Kajuga, alagidde eddwaaliro ekkulu e Mulago oba Nakasero, okwekebejja eyali Minisita omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja era omubaka omukyala ow’e Bududa Agnes Nandutu, okuzuula endwadde ezimutawanya.

Akawungeezi ka leero, Nandutu, abadde alina okutandiika okwewozaako n’okulaga nti talina musango, wabula munnamateeka we Charles Nanda, kwekutegeeza omulamuzi nti omuntu we mulwadde.

Munnamateeka Nanda, asabye omulamuzi okwongezaayo omusango nga Nandutu, yetaaga okuwumula n’okuteeka mu nkola ebiragiro by’abasawo.

Oluvanyuma Nandutu, asabye kkooti, okweyogerere era amangu ddala asobodde okutegeeza omulamuzi, “nti mulwadde nnyo“.

Nandutu wakati mu kulukusa amaziga, agambye nti obulwadde bweyongedde okumuluma nga singa alemwa ogondera abasawo, ayinza n’okufa. Agamba nti abasawo, bakamala okukyusa eddagala lye era asigazza ennaku 5 okulimalayo, okusobola okuddayo okumwekebejja.

Wakati ng’amaziga gamuyitamu, asabye omulamuzi okumutegeeza ku ndwadde ye mu kyama, nga tasobola kutegeeza kkooti yonna ebadde ekubyeko abantu omuli n’abasajja.

Amangu ddala omulamuzi alagidde eddwaaliro lye Mulago oba Nakasero, okwekebejja Nandutu, okuzuula ekituufu ekimuluma mu wiiki 2 zokka, omusango okusobola okuddamu okutambula.

Okunoonyereza kulaga nti Nandutu, yeenyigira mu kubba amabaati g’e Karamoja nga yatwala amabaati 2,000 nga ku ffaamu ya Nandutu e Mukono, bazuulayo amabaati 1,617. Mu kkooti, waliwo abantu ab’enjawulo, abagambibwa okwenyigira mu kubba amabaati nga kuliko ne Minisita omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=545s

You can follow me on X, https://x.com/kyeyunesteve