Ttiimu y’eggwanga ey’abazannyi abali wansi w’emyaka 17 (The Cubs) kati erinze kusamba mu World Cup mu November, 2025 mu ggwanga lya Qatar.

The Cubs yakoze ebyafaayo, okuwangula okukiikirira Uganda omulundi ogugenda okusooka.

Yakubye Gambia ggoolo 2-1 nga ggoolo zonna zateebeddwa James Bogere ku Lwomukaaga wali mu ggwanga lya Morocco.

Uganda yabadde mu kibinja A nga yamalira mu kyakusatu (3) ne Gambia nayo yamalidde mu kyakusatu (3) mu kibinja C

Mu kibinja A, Morocco yakulembera ekibinja, Zambia yakwata kyakubiri.

Ensi 10 ezigenda okukiikirira Africa World Cub kuliko

Misiri

Uganda

Burkina Faso

Ivory Coast

Mali

Morocco

Senegal

South Africa

Tunisia

Zambia

Kinajjukirwa nti ttiimu ya Uganda ey’abali wansi w’emyaka 20 (The Hippos) yayitawo okugenda mu World Cup mu 2019 eyali egenda okubeera mu ggwanga erya Indonesia.

Olw’embeera y’obulwadde bwa Covid-19, World Cup teyazanyibwa, ekifudde Cubs ttiimu y’eggwanga Uganda egenda okusooka okusamba mu World Cup.

Omutendesi wa The Cubs, Brain  Ssenyondo agamba nti okugenda mu World Cup, bagenda kukola byafaayo kuba asobodde okweyambisa omukisa guno, okutegeera ensobi eziri mu ttiimu n’okuzuula engeri entuufu, okuzikolako – https://www.youtube.com/watch?v=F8LPleFqdJg&t=541s