Omubalirizi w’ebitabo ku ttendekero li Nakawa Vocational Institute, Wampero Samuel, asindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga 22 omwezi guno oluvannyuma lw’okuggulwako emisango 10 okuli n’ogwokwefuula kyatali nafuna omulimu.
Wampero asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi ku Buganda Road era asindikiddwa e Luzira okutuusa nga 22, April, 2025.
Kigambibwa nti empapula za Siniya ey’omukaaga (S.6) Wampero zeyakozesa okufuna omulimu ku Nakawa Vocational Institute tezaali zize wabula bino abisambazze neyegaana n’emisango gyonna egimuguddwako.
Okunoonyereza kulaga nti okuva 2004 abadde afuna omusaala n’obusiimo ku biwandiiko ebijingirire.
Ono akakiiko k’amaka g’Obwapulezidenti akalwanyisa obulyake n’obukenuzi ka State House Anti – Corruption Unit nga bali wamu ne Poliisi, kekamukutte.