Bannabyabufuzi, bagudde mu lukwe nti Gavumenti eri mu kwanguyiriza, okulaba nga bazaayo Dr. Kizza Besigye bamuzaayo mu kkooti y’amaggye.
Wiiki ewedde ku Lwokutaano, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Rosette Comfort Kania yagobye okusaba kwa Besigye ne munne ne Hajji Obeid Lutale, okweyimirirwa.
Wadde batuukiriza byonna ebisanyizo, omulamuzi Kania yawadde ensonga eziwerako omuli
– Emisango egibavunaanibwa gya naggomola egy’okulya mu nsi olukwe.
– Emisango gyadizibwa mu nsi ez’enjawulo ng’oludda oluwaabi, lwetaaga obudde okunoonyereza ssaako ne ssente okutambula mu nsi ez’enjawulo okufuna obujjulizi.
– Mungeri y’emu omulamuzi agamba nti singa bayimbulwa, bayinza okutaataganya okunoonyereza.
Ensala y’omulamuzi eyabadde ku ‘Page’ 17, yalese bannamateeka ba Besigye ne mikwano gye, nga baweddemu essuubi.
Wabula enkya ya leero, bannabyabufuzi, abakyalinze okuwandiisa ekibiina kyabwe ekya ‘the People’s Freedom Front (PFF)’, bagamba nti gavumenti egezaako okomyawo enongoosereza mu kkooti y’amaggye, okulaba nga Besigye ne Lutale babazaayo mu kkooti y’amaggye, nga balina bakuumira mu kkomera.
Ibrahim Ssemujju Nganda, omubaka wa Monicipaali y’e Kira era omwogezi wa PFF naye akakasiza nti obukadde 100, obwawereddwa ababaka ba Palamenti, kigendereddwamu, okulaba nga olunnaku olwaleero ku Lwokubiri, batandikirawo okuwagira enongoosereza, ezigenda okwanjulwa Minisita w’ebyokwerinda, Jacob Oboth Oboth eza kkooti y’amaggye.
Ssemujju ne banne, basinzidde wali Katonga ku kitebe kyabwe nga bagamba nti balina okulwana okutuusa nga Besigye avudde mu kkomera – https://www.youtube.com/watch?v=p6gG2S1OajE
You can follow me on X, https://x.com/kyeyunesteve