Omuvubuka Ronald Katende myaka 26 eyakwatibwa olw’okuyiwa kasasiro mu mwala mu bitundu bye Katwe aweereddwa ekibonerezo.

Katende nga mutuuze mu zzooni ya Kasule e Katwe, Makindye, yakwatiddwa wiiki ewedde wali ku Queens Way.

Agamba nti abadde ayitibwa abatuuze ab’enjawulo okutwala kasasiro waabwe ne bamuwaayo akasente.

Mu kkooti ku City Hall mu Kampala, aweereddwa ekibonerezo kyakusibwa ebbanga lya myezi 4 oba okutanzibwa ssente emitwalo 50.

Katende abadde alina okutanzibwa obukadde bw’ensimbi kkumi na kamu (11) wabula Omulamuzi asobodde okumukwatibwa ekisa.Katende omusango yagukkirizza wiiki ewedde era y’asaba kkooti emuyimbule ku kakalu kaayo kubanga Mukyala we alindirira okuzaala ate nga yamulabirira wabula omulamuzi yabigaana okutuusa lwakaligiddwa – https://www.youtube.com/watch?v=tUXMtau7po8