Bannakibiina ki NUP abaakwatibwa okuli Kanyama wa Robert Kyagulanyi Ssentamu, Achilleo Kivumbi, Grace Wakabi amanyikiddwa nga Smart-wa Bobi ne Gadafi Mugumya, basindikiddwa mu kkooti enkulu e Masaka okwewozaako.

Mu kkooti esookerwako e Masaka babadde ku misango omuli

– Okubba ssente emitwalo 20

– Okubba esweta ya munnamawulire Margret Kayondo

– Okubba amassimu ebalibwamu 730,000

– Okutuusa obulabe ku bantu okuli bannamawulire Zainab Namusaazi ne boonona kkamera ye ebalibwamu (1.5M), ssaako n’okubatisatiisa.

Bino byona, byaliwo mu disitulikiti y’e Lwengo, 8, May, 2024 ku kyalo Manja mu ggoombolola y’e Kisekka.

Bonna 3 basindikiddwa ku limanda okutuusa, lwe banayitibwa mu kkooti enkulu.

Okunoonyereza kulaga nti emisango bagizza nga bagenze mu kuziika Pascal Ssekasamba eyafiira mu ggwanga erya Bungereza.

Wabula bannamateeka baabwe nga bakulembeddwamu George Musisi bagamba nti bagenda kulwana okutuusa nga abantu baabwe bagiddwa mu kkomera.

Munnamateeka Musisi, agamba nti olw’abantu abangi abali mu kkomera abakyalinze okuwozesebwa, balina okulwana okutaasa abantu baabwe. Mungeri y’emu agamba nti bewunyiza, obujjulizi okulaga nti mulimu n’amannya g’abantu abanene, abawangalira e Masakahttps://www.youtube.com/watch?v=pljNQVtzYL0