Ekiyongobero kibuutikidde ensi yonna, Paapa Francis bw’afudde enkya ya leero ku Easter Monday.
Okusinzira ku birangiriddwa Cardinal Kevin Farrell okuva e Vatican, Paapa Francis afudde ku 7:35 ez’okumakya.
Okufa kwe, kulese bangi nga basobeddwa kuba olunnaku olw’eggulo, mu kusaba kwa Easter Sunday ku St. Peter’s Basilica e Vatican, Paapa Francis yawadde abantu be emikisa era bangi bavuddeyo, nga bafunye ku ssanyu olwa Paapa okuddamu okutambuza emirimu gye.
Ebikwata ku Paapa Francis
Jorge Mario Bergoglio, yazaalibwa nga 17, December 1936.
Afiiridde ku myaka 88
Yazaalibwa mu ggwanga lya Argentina
Yatuuzibwa ku bwa Paapa 13, March, 2013
Ye Paapa eyasooka okuva mu bitundu bya America ne Southern Hemisphere okuva ku Paapa Gregory III mu 741.
Abadde ayogera ennimi ez’enjawulo eziri mu 7 omuli Olusipanishi, Oluyitale, Olugermany, Olufalansa, Oluportugal, Olungereza n’endala.
– Abadde alina amawugwe ga ludda lumu, amalala gagibwamu nga muto olw’obulwadde.
– Abadde ayagala nnyo amazina aga ‘Tango‘ agazinwa ennyo mu ggwanga erya Argentina.
– Mu buvubuka bwe, yali kanyana era bbawunsa ku bbaala ez’enjawulo n’okusingira ddala mu ggwanga erya Argentina.
– Nga bbawunsa, yasobola okufuna ‘School Fees’ ez’okusoma
– Yaliko omusomesa wa literature, Philosophy mu myaka gye 60 mu ggwanga erya Argentina.
– Abadde muntu wabantu nnyo omuli okusembeza abanaku n’abalwadde okubasabira
– Abadde musajja muyivu nnyo ng’alina Diguli mu Chemistry ne Philosophy n’endala.
– Abadde alina obutuuze mu nsi 3 okuli Argentina, Italy ne Vatican City
– Ebyafaayo biraga nti ku myaka 12, Paapa Francis aliko omuwala gwe yegomba era yamusuubiza nti singa tamuwasa mu bukulu, agenda kuyingira ogwa ‘Father’, ekintu kye yakola.
– Abadde musajja ayagala ennyo akapiira nga muwagizi wa San Lorenzo mu Argentina.
– Mu 2001, nga tannaba kuweebwa bwa Paapa, ebifaananyi byafuluma bwe yali anywegera ebigere by’abantu abalwadde omuli aba Mukenenya mu ggwanga erya Argentina.
– Nga Paapa asobodde okutambula mu nsi ez’enjawulo eziri 50 omuli
– Brazil – 22, July, 2013 (gye yasookera)
– Abaddeko mu South Korea, Bufalansa, Cuba, America, Kenya, Uganda, Mexico, Misiri, n’endala.
Kigambibwa ekeleziya yakabeera ne Paapa 266 era mbu Paapa wa Francis abadde wa 266 – https://www.youtube.com/watch?v=Yitur698KEo